Acts 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka mulifuna amaanyi Mwoyo Mutuukirivu bw'alibajjako; ate mulibeera bajulirwa bange mu Yeruzaalemu ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samariya, n'okutuusa ensi gy'ekoma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mulifuna amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Mwoyo Mutuukirivu bw'alijja ku mmwe, muliweebwa amaanyi. Era mulimmanyisa mu Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu Samariya, n'okutuusiza ddala ensi yonna gy'ekoma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.