Acts 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo, bwe yasirissa ebyo, bonna nga balaba, n'atwalibwa waggulu, ekire ne kimubaggya mu maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunula n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okwogera ebyo, n'atwalibwa mu ggulu nga balaba, ekire ne kimubikka, ne bataddayo kumulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunuulira, n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe.