Acts 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'addamu nti: “Nedda, Mukama; kubanga nze siryanga ku bibi oba ebitali birongoofu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero n'addamu nti, “ Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'addamu nti: “Nedda, Mukama wange, sisobola, kubanga siryanga kintu kya muzizo, wadde ekitali kirongoofu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero n'agamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo newakubadde ekibi.