Acts 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero yali akyasobeddwa nga yeebuuza ky'alabye kye kitegeeza, abasajja Koruneliyo be yali atumye ne batuuka ku luggi oluvannyuma lw'okubuuza ewa Simoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peetero bwe yali ng'akyebuuza munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu kiseera ekyo, Peetero bwe yali ng'akyasobeddwa, nga yeewuunya ky'alabye, abasajja abaatumibwa Koruneeliyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni gy'eri, ne batuuka, ne bayimirira ku mulyango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Peetero bwe yabuusabuusa munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi,