Acts 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga muntu musomi, ng'atya Katonda, ye n'ennyumba ye yonna, nga yeegayirira butasalako, era ng'agabira nnyo abaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, era ng'asaba Katonda buli kiseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali mujjumbizi wa ddiini, ye n'abantu be bonna, nga bassaamu Katonda ekitiibwa. Abayudaaya yabagabiranga ku bintu bye, era yasinzanga Katonda bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n'asabanga Katonda ennaku zonna.