Acts 10:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'akkirira abasajja gye baali, n'abagamba nti: “Nze wuuyo gwe munoonya; nsonga ki ebaleese?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero n'akka wansi n'agenda eri abasajja n'agamba nti, “Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero n'agenda eri abasajja, n'abagamba nti: “Nze nzuuno gwe munoonya. Nsonga ki ebaleese?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Peetero n'akka eri abantu n'agamba nti Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?