Acts 10:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Nammwe mumanyi bwe kitakkirizibwa Omuyudaaya okutabagana ne munnaggwanga, oba okumukyalira, naye Katonda y'andaze nga bwe sandiyise muntu n'omu mubi oba atali mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita omuntu yenna ow'omuzizo oba omubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nga bwe kiri eky'omuzizo, Omuyudaaya okutabagana n'ow'eggwanga eddala, wadde okumukyalira. Kyokka Katonda andaze nga sisaana kuyita muntu n'omu nti si mulongoofu, oba nti mubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita amuntu yenna ow'omuzizo oba omubi.