Acts 10:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo nange bwe bampise, kwe kujja awatali kulonzalonza. Naye kati mbuuza ensonga empisizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyenva mbuuza nti Kiki ekimpisizza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe nayitibwa, kyennava nzikiriza okujja. Kati mbabuuza, nsonga ki gye mumpitidde?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyeava mbuuza nti Kiki ekimpisizza?