Acts 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu n'alabikirwa ddala bulungi emisana nga ku ssaawa eyoomwenda, n'alaba malayika wa Katonda ng'ayingira gy'ali, n'amugamba nti: “Koruneliyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, n’ayolesebwa, n’alabira ddala malayika wa Katonda ng’ajja gy’ali, n’amuyita nti, “Koluneeriyo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu ssaawa ng'ey'omwenda ey'olunaku n'alabira ddala mu kwolesebwa malayika wa Katonda ng'ayingira gyali n'amuyita nti, “ Koluneeriyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lumu ku ssaawa nga mwenda ez'emisana n'alabikirwa, n'alabira ddala bulungi malayika wa Mukama ng'ajja gy'ali, era ng'amuyita nti: “Koruneeliyo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo n'alaba mu kwolesebwa mu lwatu, nga mu ssaawa ey'omwenda ey'emisana, malayika wa Katonda ng'amuyingirira, ng'amugamba nti Koluneeriyo.