Acts 10:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Koruneliyo n'agamba nti: “Ennaku nnya emabega, mu kabanga kano kennyini, nali mu nnyumba yange nga neegayirira ku ssaawa eyoomwenda, omusajja n'annyimirira mu maaso ng'ayambadde engoye ezitemagana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Koluneeriyo n'agamba nti, “Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n'ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimasamasa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Koruneeliyo n'addamu nti: “Ennaku bbiri eziyise, mu kiseera nga kino, ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, nali mu nnyumba yange nga nsinza Katonda. Mu kiseera ekyo ne ndaba omuntu ayambadde engoye ezimasamasa, ng'ayimiridde mu maaso gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimamasa,