Acts 10:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyennava nno nkutumira amangu. Era naawe okoze bulungi n'ojja. Kaakano tuutuno ffenna mu maaso ga Katonda okuwulira byonna Omukama bye yakulagira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo amangwago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago nze kwe kukutumira, era okoze bulungi okujja. Kale kaakano tukuŋŋaanye wano mu maaso ga Katonda, okuwulira byonna Mukama by'akulagidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amangu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.