Acts 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amwekaliriza ng'atidde, n'addamu nti: “Mukama, ate kiki?” Malayika n'amugamba nti: “Essaala zo ne by'ogabira abaavu byambuse mu maaso ga Katonda ng'ekitone eky'ekijjukizo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Koluneeriyo n’amutunuulira enkaliriza ng’atidde nnyo. N’amubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?” Malayika n’amuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bw’ogabira abaavu bw’atyo n’akujjukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Koluneeriyo n'amutunuulira enkaliriza ng'atidde nnyo. N'agamba nti, “Kiki, Mukama wange?” N'amuddamu nti, “ Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye ng'ekijjukizo mu maaso ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Koruneeliyo n'amusimba amaaso ng'atya, n'amugamba nti: “Kiki Mukama wange?” Malayika n'amuddamu nti: “Katonda asanyukidde okwegayirira kwo n'okugaba kwo, era akusiimye ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amwekaliriza amaaso n'atya n'agamba nti Kiki, Mukama wange? N'amugamba nti Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye olw'okujjukiza mu maaso ga Katonda.