Acts 10:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atulagira okuyigiriza abantu n'okutegeeza nti ye y'oyo Katonda gwe yassaawo okulamula abalamu n'abafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango w'abalamu n'abafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yatulagira okutegeeza abantu be, era n'okubakakasa nti ye wuuyo, Katonda gwe yateekawo, okuba omulamuzi w'abalamu n'abafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango gw'abalamu n'abafu.