Acts 10:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye wuuyo abalanzi bonna gwe baakakasa nti buli amukkiriza afuna ekisonyiwo ky'ebibi mu linnya lye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi bonna gwe boogerako, nga bagamba nti: ‘Buli amukkiriza, asonyiyibwa ebibi bye olw'obuyinza bw'erinnya lye.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.