Acts 10:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakkiriza abaava mu batayirire abaali bazze ne Petero ne basamaalirira olw'okulaba ng'ekirabo kya Mwoyo Mutuukirivu kiyiiriddwa ne ku b'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku b'amawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya abakkiriza, abajja ne Peetero okuva e Yoppa, ne basamaalirira, bwe baalaba nga n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde ekirabo ekya Mwoyo Mutuukirivu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa.