Acts 10:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti baali bawulira nga boogera ennimi endala, nga bagulumiza Katonda. Petero n'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda. Awo Peetero n’agamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'abuuza nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga baabawulira nga boogera ennimi, era nga batendereza Katonda. Peetero n'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'addamu nti