Acts 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama eyayogera naye bwe yamala okugenda, n'ayita babiri ku b'omu nnyumba ye ko n'omuserikale omusomi omu ku abo be yali atwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo n’ayita abaweereza be babiri n’omuserikale atya Katonda, omu ku baweereza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga bulijjo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama eyamugamba ebyo bwe yagenda, Koruneeliyo n'ayita babiri ku baweereza be, n'omuserikale omu assaamu Katonda ekitiibwa, era nga ye omu ku abo abaamukuumanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga buliijo: