Acts 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku olwaddirira, bwe baali bakyali mu kkubo, nga basemberera ekibuga, Petero n'alinnya waggulu ku nnyumba okwegayirira nga ku ssaawa mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, bwe baali nga bakyali mu kkubo, nga banaatera okutuuka e Yoppa, Peetero n'alinnya waggulu ku nnyumba, ku ssaawa nga mukaaga ez'omu ttuntu, okusinza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'okubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga.