Acts 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo Mutuukirivu n'aŋŋamba okugenda nabo awatali kulonzalonza. N'abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tuyingira mu nnyumba y'omusajja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo Mutuukirivu n'aŋŋamba nti: ‘Genda nabo nga tobuusabuusa.’ Abooluganda bano omukaaga, nabo baagenda nange e Kayisaariya, era twayingira ffenna mu nnyumba ya Koruneeliyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli;