Acts 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atunyumiza nga bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde, n'amugamba nti: ‘Tuma e Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti, ‘ Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye eryokubiri Peetero;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Koruneeliyo oyo n'atubuulira nga bwe yalaba malayika ng'ayimiridde mu nnyumba ye, era ng'amugamba nti: ‘Tuma e Yoppa, oyite Simooni Peetero,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye ery'okubiri Peetero;