Acts 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nzijukira ekigambo ky'Omukama kye yatugamba nti: ‘Yowanna yabatizanga na mazzi; naye mmwe mujja kubatizibwa ne Mwoyo Mutuukirivu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne njijukira Mukama kye yagamba nti: ‘Yowanne yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.