Acts 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno obanga Katonda yabawa ekirabo kye kimu kye yawa ffe abakkiriza Omukama Yezu Kristu, nandibadde ani nze okuziyiza Katonda?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oba nga Katonda yawa ab'amawanga amalala abo ekirabo ekyo, nga bwe yakiwa ffe bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze ani eyandisobodde okuziyiza Katonda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?