Acts 11:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baawulira ebyo, ne basirika, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Awo nno n'ab'amawanga nabo Katonda abawadde okubonerera bafune obulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “ Kale Katonda awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baawulira ebyo, ne bakkakkana, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Ddala n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde okwenenya bafune obulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Kale Katonda; awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.