Acts 11:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bali abaali basaasaanyiziddwa ekiyigganyizo ekyabaawo olwa Stefano, ne batambula, ne batuuka mu Fenisiya, Kupuro ne mu Antiyokiya, naye nga tebayigiriza mulala yenna wabula Abayudaaya bokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakkiriza bwe baasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo Siteefano mwe yattirwa, ne batambula, ne batuuka mu Foyinikiya, ne mu Kipuro ne mu Antiyookiya, nga tebayigiriza muntu mulala, wabula Abayudaaya bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka.