Acts 11:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ku bo ab'omu Kupuro n'abomu Kureni, bwe baagenda mu Antiyokiya, ne boogera n'Abagereeki, ne babayigiriza Omukama Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka waaliwo abamu ku bo, ab'e Kipuro ne Kireene, bwe baali nga bagenda mu Antiyookiya, ne bayigiriza n'abatali Bayudaaya, ne babategeeza Amawulire Amalungi aga Mukama Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu.