Acts 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuukayo, n'alaba eneema ya Katonda, n'ajaguza. N'abakubiriza bonna banywerere ku Mukama n'omutima omugumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti, “ Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatuukayo, n'alaba nga Katonda bw'akwatiddwa abantu abo ekisa, n'asanyuka. N'abakubiriza bonna bamalirire mu mitima gyabwe okunywerera ku Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe: