Acts 11:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamuggukako, n'amutwala mu Antiyokiya. Ne bamala omwaka mulamba nga basisinkana Ekleziya, ne bayigiriza ekibiina kinene; mu Antiyokiya abayigirizwa gye baasookera okuyitibwa Abakristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamulaba, n'amuleeta mu Antiyookiya. Ne bamala omwaka mulamba nga bali n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Mu Antiyookiya abayigirizwa mwe baasookera okuyitibwa Abakristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.

Recommended Reading