Acts 11:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku bo ayitibwa Agabo n'ayimirira, n'alanga mu Mwoyo Mutuukirivu nti enjala ey'amaanyi yali ejja kugwa ku nsi yonna. Kino kyabaawo mu mirembe gya Kulawudiyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bo erinnya lye Agabo n’asituka ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’ategeeza ng’enjala ey’amaanyi bw’ejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo, erinnya lye Agabo, Mwoyo Mutuukirivu n'amwogeza, n'alanga nti: “Wajja kubaawo enjala mu nsi yonna.” Enjala eyo yabaawo mu bufuzi bwa Kulawudiyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo.