Acts 11:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nali ndi mu kibuga Yoppa, nga neegayirira, ne mbulawo mu mwoyo, ne ndabikirwa, ne ndaba ekintu ekikkirira nga kiri ng'essuuka ennene gye bakkiririza ku nsonda zaayo ennya okuva mu ggulu, ne kijja wansi we nali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku nsonda nnya okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nali mu kibuga Yoppa nga nsinza Katonda, ne mba ng'avudde ku nsi, ne ndabikirwa ekintu ekiri ng'essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya, nga kikka okuva mu ggulu, ne kijja gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku birenge ebina okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira: