Acts 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nakitunuulira okwetegereza, ne ndabamu ebisolo eby'oku nsi, n'ebyewalula, n'ebinyonyi eby'omu bbanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'ebyewalula n'ennyonyi ez'omu bbanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nakyetegereza, ne ndabamu ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, n'ebyewalula, n'ebinyonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'eby'ekulula n'ennyonyi ez'omu bbanga.