Acts 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ne nziramu nti: ‘Nedda, Mukama; anti ekikyafu oba ekitali kirongoofu tekiyitanga mu kamwa kange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne ŋŋamba nti, ‘ Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekitali kirongoofu tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nziramu nti: ‘Nedda, Mukama wange! Siryanga kintu kitali kirongoofu, wadde eky'omuzizo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye neŋŋamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekibi tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.