Acts 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero bwe yeddamu, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala ng'Omukama atumye malayika we n'anzigya mu mikono gya Erode ne mu ekyo Abayudaaya bonna kye babadde balinda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero bwe yeddamu n’alyoka ategeera bwe bibadde, n’agamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we n’anziggya mu mukono gwa Kerode, era n’amponya n’eby’akabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero bwe yeddamu n'agamba nti, “ Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anzigya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero bwe yategeera ebibaddewo, n'agamba nti: “Kaakano ntegedde nga Mukama atumye malayika we, n'anzigya mu mikono gya Herode, era n'amponya ebyo byonna Abayudaaya bye babadde basuubira okunkolako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Peetero bwe yeddamu n'agamba nti Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anziya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.