Acts 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwategeera ng'eddoboozi lya Petero, olw'essanyu n'oluggi teyaluggulawo, wabula yadduka buddusi n'addayo munda, n'ategeeza nti Petero y'ali ku luggi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, n’adduka buddusi nga n’oluggi talugguddeewo, n’ategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'addayo mangu n'agamba nti, “ Peetero ayimiridde ebweru ku luggi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwategeera ng'eddoboozi lya Peetero, yenna n'ajjula essanyu, n'adduka n'addayo nga n'oluggi taluggudde, n'agamba nti: “Peetero ayimiridde wabweru ku luggi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'ayingira mbiro n'agamba nti Peetero ayimiridde ebweru ku luggi.