Acts 12:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abawenyaako n'omukono basirike; n'abanyumiza Omukama nga bw'amuggye mu kkomera; n'abagamba nti: “Bino mubibuulire Yakobo n'abooluganda.” N'afuluma, n'agenda mu kifo ekirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abakomako basirike, n’alyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. N’abagamba nti, “Mutegeeze Yakobo n’abooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo n’afuluma n’alaga mu kifo ekirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti, “ Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda.” N'avaayo n'agenda mu kifo awalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'abawenya n'omukono basirike, n'ababuulira nga Mukama bw'amuggye mu kkomera. Era n'abagamba nti: “Bino mubibuulire Yakobo n'abooluganda abalala.” N'avaayo, n'agenda awantu awalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda. N'avaayo n'agenda mu kifo awalala.