Acts 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erode bwe yamunoonya nga tamulaba, n'alyoka awozesa abakuumi, n'alagira okubatta. Awo n'ava mu Buyudaaya, n'akkirira mu Kayisariya, n'abeera eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kerode bwe yamutumya ne basanga nga taliiyo, ne bamunoonya n’ababula. Abaserikale bwe baamala okuwozesebwa n’alagira babafulumye babatte. Oluvannyuma Kerode n’ava e Buyudaaya n’agenda abeera e Kayisaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Herode bwe yamunoonya n'atamulaba, n'awozesa abakuumi, n'alagira battibwe. Awo n'ava mu Buyudaaya, n'aserengeta e Kayisaariya n'abeera eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo.