Acts 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Erode yali asunguwalidde abantu b'e Tiiro ne Sidoni. Naye bo ne bajja gy'ali nga bakkaanyizza, ne bamatiza Bulasto eyakuumanga ennyumba ya kabaka, ne basaba okutabagana, kubanga ensi yaabwe emmere yagiggyanga mu nsi ya kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kerode yali anyiigidde abantu b’e Ttuulo n’e Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era n’abayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Herode n'asunguwalira abantu ab'e Tiiro ne Sidoni. Naye bo ne beetaba wamu ne bajja bamulabe. Ne bawooyawooya Bulasto eyakuumanga olubiri lwe, ne basaba Kabaka Herode emirembe, kubanga ensi ye, ye yaliisanga eyaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka.