Acts 12:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olulagaanye, Erode n'atuula ku nnamulondo ng'ayambadde eby'obwakabaka, n'ayogera gye bali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode n’ayambala eminagiro gye egy’obwakabaka n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ayogera eri ababaka n’abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku lunaku olwali olulagaanye, Herode n'ayambala ebyambalo bye eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, n'ayogera gye bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo.