Acts 12:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina ne kireekaanira waggulu nti: “Eddoboozi lino lya lubaale, si lya muntu buntu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne boogerera waggulu nti, “ Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bamuwaana nga bagamba nti: “Si muntu ye ayogera wabula Katonda ye ayogera!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne boogerera waggulu nti Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.