Acts 12:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago malayika w'Omukama n'amukuba olw'okubanga yali tawadde Katonda kitiibwa; n'aliibwa envunyu, n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago malayika wa Mukama n’amubonereza, n’ajjula envunyu yenna, ne zimulya n’afa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, n’atawa Katonda kitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago malayika wa Mukama n'akuba Herode, kubanga tawadde Katonda kitiibwa. N'aliibwa envunyu, n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa.