Acts 12:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Barunaba ne Sawulo bwe baamaliriza omulimu gwabwe, ne badda okuva e Yeruzaalemu nga batutte Yowanna eyayitibwanga Mariko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamaliriza omulimu gwabwe, ne bava e Yerusaalemu, ne baddayo nga bali ne Yowanne Mariko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko.