Acts 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalaba nga kisanyusizza Abayudaaya, n'agenda mu maaso akwate ne Petero. Kyokka ennaku ezo nga za Migaati Egitazimbulukuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yalaba nga ky’akoze kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata Peetero mu kiseera eky’Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero mu nnaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yalaba ng'Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera n'akwata ne Peetero. Ekyo kyabaawo mu biseera by'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero. Ze nnaku ez'emigaati egitazimbulukuswa.