Acts 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amukwasa emigigi ena egy'abaserikale kinnabana okumukuuma, ng'ayagala okumuleeta mu maaso g'ekibiina nga Pasika ewedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amusiba mu kkomera, ng’amutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina eby’abaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ng’Embaga y’Okuyitako ewedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga (16) okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okumukwata n'amuteeka mu kkomera, n'amukwasa abaserikale kkumi na mukaaga, bamukuume bana bana, ng'ayagala okumuleeta mu maaso g'abantu, ng'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ewedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde.