Acts 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
malayika w'Omukama n'alabika, ekitangaala ne kibuna ekkomera, n'akuba Petero ku lukugunyu, n'amuzuukusa, n'agamba nti: “Situka mangu.” Awo enjegere ne zigwa okuva ku mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba malayika wa Mukama n’ayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika n’akuba ku Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’amugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti, “ Yimuka mangu.” Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, ekitangaala ne kibuna akasenge konna. Malayika n'akuba ku Peetero mu mbiriizi, n'amuzuukusa ng'agamba nti: “Golokoka mangu!” Awo enjegere ne ziva ku mikono gya Peetero ne zigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti Yimuka mangu. Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa.