Acts 12:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika n'amugamba nti: “Weesibe, onaanike n'engatto zo.” Naye n'akola atyo. Era n'amugamba nti: “Suulira omunagiro gwo ongoberere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’amugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale n’engatto zo.” Peetero n’akola nga bw’agambiddwa. Malayika n’amugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika n'amugamba nti, “ Weesibe, oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. N'amugamba nti, “ Yambala ekyambalo kyo, ongoberere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'amugamba nti: “Weesibe olukoba lwo era oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. Era n'amugamba nti: “Suulira omunagiro gwo, ongoberere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika n'amugamba nti Weesibe, oyambale engatto zo. N'akola bw'atyo. N'amugamba nti Yambala ekyambalo kyo, ongoberere.