Acts 12:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'afuluma n'amugoberera; naye n'atategeera nti malayika kye yali akola kyali bwe kiri; yali alowooza nti alabikiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero n’agoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ng’alowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'afuluma, n'agoberera malayika. Kyokka n'atamanya nti malayika by'akola by'ebyo ddala. Yalowooza nti aloota buloosi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa.