Acts 13:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Ekleziya y'omu Antiyokiya mwalimu abalanzi n'abayigiriza: Barunaba ne Simewoni eyayitibwanga Omuddugavu, ne Lukiyo ow'e Kureni, Maneeni munnabbeere wa Erode omufuzi atwala ekitundu, ne Sawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kkanisa y'omu Antiyokiya yaliyo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali mu Antiyookiya, mwalimu abalanzi n'abayigiriza: Barunaba ne Simyoni eyayitibwanga Omuddugavu, ne Lukiyo ow'e Kireene, ne Manayeni eyakulira awamu n'omufuzi Herode, ne Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu Antiyokiya mu kkanisa eyaliyo waaliwo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo.