Acts 13:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Ggwe kali bukuusa, kalimbira, omwana wa Sitaani, omulabe wa buli butuukirivu, ajjudde obukuusa n'obugwenyufu, onootuusa wa okugootaanya amakubo ga Mukama gonna amagolokofu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba nti, “ Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Ggwe omwana wa Sitaani! Ggwe omulabe w'obutuukirivu bwonna, ojjudde obukuusa bwonna. Tolirekayo kuggya bantu mu makubo ga Mukama amagolokofu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba nti Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu?