Acts 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bayita mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'omu Pisidiya. Ku lwa Sabbaato ne bayingira mu sinaagooga, ne batuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bo ne bava e Peruga, ne batuuka mu Antiyookiya eky'omu Pisidiya. Ku lunaku olwa Sabbaato ne bayingira mu kkuŋŋaaniro, ne batuula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuggaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula.