Acts 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka n'Abalanzi bwe byamala okusomebwa, abakulu b'omu sinaagooga ne babatumira nga bagamba nti: “Basajja abooluganda, obanga mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti, “ Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebitundu ebiggyibwa mu mateeka ga Musa ne mu byawandiikibwa abalanzi bwe byaggwa okusoma, abakulu b'ekkuŋŋaaniro, ne batumira ba Pawulo nga bagamba nti: “Abooluganda, oba nga mulina ekigambo eky'okubuulira abantu, mukibabuulire.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.