Acts 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda w'abantu bano Yisirayeli, yalonda bajjajjaffe, abantu baffe n'abafuula ba kitalo nga bakyali mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda w'Abayisirayeli yalonda bajjajjaffe, n'abafuula eggwanga eddene bwe baali mu nsi y'e Misiri. Oluvannyuma n'abaggyayo n'obuyinza bwe obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa.